Skip to content Skip to footer

Abataxi balajana tebanafuna kunsimbi zómuggalo

Bya Prossy Kisakye,

Ab’akulembeze b’abagoba ba Taxi ne ba Conductor wansi w’ekibiina ekibagatta ki Uganda Transport Development Agency (UTRADA), balaze obutali bumativu n’enteekateeka y’okugabira abankuseere ensimbi zibayambeko okuyita mu muggalo.

Olunaku lweggulo abantu abasoba mu mitwalo 14 mu 3642 bebabadde bamaze okwefunira ensimbi zino emitwalo e 10

Wabula mukwogerako ne bannamawulire mu kampala, Mustafa Mayamba nga ye Sentebe wa UTRADA, agamba nti abantu bebakulembera bangi tebalina kebafunye yadde nga bawandiisibwa

Asabye Ssabaminisita abeeko enteekateeka ey’enjawulo gyalambika kuba taxi ngembeera tenasajuka

Leave a comment

0.0/5