Abakulembeze b’abalokole bakedde kuddukirira mulanga gwa KCCA okulongoosa ekibuga kampala.
Bano bagogodde emyala, okukungaanya kasasiro saako n’okwera enguudo ezenjawulo okwetolola ekibuga.
Pastor Fred Mugambwa okuva mu kanisa ya carnival temple e Kitintale yoomu ku bakulembedde banne okulongoosa n’ategeza nga bwebabadde batukiriza obukulembeze bwaabwe okufuuka eky’okulabirako eri abalala.