Amawulire

Basatu bakwatibwa mu kubba ebigezo

Basatu bakwatibwa mu kubba ebigezo

Ivan Ssenabulya

November 8th, 2022

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Poliisi e Kibibi mu disitulikiti eye Butambala, ekutte abantu 3 abasangiddwa nga basala ebbaasa omubadde ebigezo bya UNEB omubadde ebibuuzo byabayizi ebyokubala.

Omwogezi w’ekitongole kya Uneb, Jenipher Kalule ategeezeza nti abasatu abakwatibwa kuliko Nelson Mbayo Mamba, akulira essomero lya Namasuba Parents Primary Shcool, e Wakiso.

Abalala babiri kuliko Chris Rutayisire, omugabi w’ebigezo ne Michael Mulindwa, ow’e Nsangi nga ye ddereeva.

Bano bakwatibwa nga tebannaba kugabana mpapula za bigezo.

Agamba nti bano olwaweereddwa ebigezo okubitwala ku ssomero bageeze mu wooteeri era babakute bakikitana okusala siiilu bagyemu ebigezo mu bbaasa.

Abayizi abekibiina ekyomusanvu leero lwebatandise ebigezo byabwe ebya PLE batandise na kubala ate akawungezi bakoze SST.