Amawulire
Kkooti ejjulirwamu enywezezza ekibonerezo eky’myaka 23 eri eyakwata abaana 4
Bya Ruth Anderah,
Kkooti ejulirwamu enywezeza ekibonerezo ky’okusibwa emyaka 23 ekyaweebwa omusajja ow’emyaka 54 olw’okukabasanya abaana abalenzi bana.
Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mubende mu kiseera ekyo Elizabeth Nahamya, yasingisa Wilfred Wamono emisango ena egyokukabasanya abaana mungeri ey’obukambwe era n’asibwa emyaka 23.
Kyokka olw’obutamatira n’ekibonerezo kino yajulira ng’agamba nti ekibonerezo ky’emyaka 23 kikambwe nyo.
Kati abalamuzi abasatu nga bakulembeddwaamu omumyuka wa Ssaabalamuzi, Richard Buteera, baakkirizza ekibonerezo kino kisigalewo bwebategezeza nti Wamono ekikolwa kyeyakola kyali kya sitaani nyo.
Wamono emisango gino yagizza mu mwaka gwa 2010 mu disitulikiti y’e Mubende era nti bonna abaamutulugunya baali bayizi.