Skip to content Skip to footer

Abakulembeze basoomozeddwa mu kawefube wokulwanyisa mukenenya

Bya Ben Jumbe,

Amawanga ga Africa gasoomoozeddwa okulwanyisa obuli bw’enguzi bwekiba nti ensimbi ezikung’aanyiziddwa okutumbula empeereza y’ebyobulamu n’ekiruubirirwa eky’okumalawo akawuka ka siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira  byakutuukirizibwa.

Bino byogeddwa Prof. Patrick Lumumba bwabadde ayogerera mu kuggalawo Omusomo gw’eggwanga ogukwata ku siriimu mu Kampala.

Prof Lumumba agamba nti okuggyako nga kino kikoleddwaako n’enfuga n’erongoosebwa, ensimbi ezitekebwa mu lutalo lwokulwanyisa sirimu zaakusigala nga zikwatibwa bubi.

Mu kiseera kye kimu asomoozezza amawanga agakula edda okuyambako aga bafirika mu kwagala okweyimirizaawo mu kutumbula ebyobulamu ebirungi.