Amawulire
Obumenyi bwámateeka bweyongedde lwa Poliisi kudduka batuuze-FDC
Bya Damali Mukhaye,
Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti, ekya Forum for democratic change kitabukidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga olw’okuggala poliisi positi okwetoloola eggwanga n’okuleka Bannayuganda mu mikono gyábamenyi bamateeka.
Poliisi wiiki ewedde yaggala poliisi positi 1,663 okwetoloola eggwanga oluvannyuma lw’abamenyi b’amateeka okuzilumba ne batta abasirikale nokubba emmundu zabwe.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku yafeesi za FDC e Najjanankumbi, amyuka omwogezi w’ekibiina, John Kigonyogo agamba nti bukya poliisi zino zaggalawo, obumenyi bw’amateeka mu bitundu by’eggwanga ebimu bweyongedde.
awaddeyo emisango esatu egy’obubbi mu kitundu kye ng’ababbi bamenya ennyumba ku muliraano ne babanyaga nga tewali ajja kubataasa.
asabye IGP anyonyole ani alina okukuuma bannauganda bwekiba nti abalina okubakuuma babavudemu.