Police etegeezeza nga bw’ekute omubaka akiikirira ekitundu kye Buyaga eyo’bugwanjuba Banabaus Tinkasiimire ,nga ono bamuvunaana kuvugisa kimama.
Ono yakwatidwa kawungeezi kayisse mu kibuga kye kibaale , oluvanyuma lw’okusangibwa nga avuga emotoka obuteebalira kko n’abantu abalala abakozessa oluguudo.
Amyuka omwogezi wa police mu uganda patrick Onyango, atubuulide nti mukaseera kano police ekyafuba okukola ku musango gw’ono , era nga mangu dala wakugasimbagana n’omulamuzi