Bya Moses Ndaye
Ababaka ku kakiiko ka palamenti akebyobusubuzi bakusisinkana omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni mu masekati gomwezi guno, ku nsonga ze bbago lya Sukaali erya Sugar Bill 2016.
Ssentebbe wakakiiko kano, omubaka wa munisipaali eye Fort Portal Alex Ruhunda ategezeza nti bakusisnkana presidenti Museveni nga 18th omwezi guno ngebimu ku biri ku mwanjo kwekuvaayo nenkola yokukumamu abakamula ssukaali, abomunda mu gwanga.
Bino webijidde nga waliwo okwemulugunya ku bbeyi ya ssukaali epaluuka olutatadde.