
Poliisi ye Iganga eriko omusajja ow’emyaka 27 gwekutte lwakusobya ku kawala ak’emyaka 12.
Omukwate ategerekese nga William Bwire omutuuze ku kyalo Nampirika mu gombolola ye Bulamaji .
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi akakasizza okukwatibwa kw’omusajja ono nga kati akuumibwa ku kitebe kya poliisi e Iganga.
Mubi agamba poliisi ekyagenda mu maaso n’okunonyereza nga era ono wakugulwako gwakujula bitanaggwa.