E Lwengo abantu 2 bafiiridde mu kabenje k’emmotoka ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.
Abagenzi bategerekese nga Wasswa Mubiru ne Steven Ziwa bonna nga batuuze bomu tawuni ya Kingo mu disitulikiti ye Lwengo.
Akabenje kano kavudde ku ttipa y’omusenyu namba UAK 224L okwabika omupiira n’eremerera omugoba waayo n’esaabala Mubiru ne Ziwa ababadde ku bodaboda namba UDZ 291R nabafiirawo.
Aduumira poliisi y’ebidduka e Masaka James Tebaijuka ategezezza nga abalumiziddwa mu ttipa bwebatannaba kutegerekeka wabula nga bali ku muyiggo gwa dereeva wa ttipa akyaliira ku nsiko.
Ttipa esikiddwa n’etwalibwa ku poliisi y’e Masaka nga okunonyereza bwekukyagenda mu maaso.