Skip to content Skip to footer

MTN erajaanye

MTN marathon

Kampuni y’amassimu eya MTN ssi mativu n’ekyakakiiko akakola ku by’empuliziganya wano mu ggwanga okubakuba engassi  ky by’obutagondera  mateeka gabyampuliziganya.

 

MTN y’alagiddwa okusasula obuwumbi 5 nga akakiiko kajilumiriza okunyoomola ebiragiro byako enfunda eziwera.

 

Akakiiko kano kagamba nti bano baalabulwa dda okulongoosa mu network yaabwe,engeri gyabagereka ebisale byabwe eri bakasitooma wabula nga tebakyuusa.

 

Akulira abakozi mu kampuni eno  Brian Gouadie agamba kino baakikola kutaasa bakasitoma baabwe kale nga akakiiko k’ebyempuliziganya kasaanye okuddamu okwetegereza engassi eno.

Gouadie agamba tebaawereddwa lukisa kwewozaako kale nga baakwongera okwogerageranya n’aba kakiiko kano aka Uganda Communications Commission okusala amagezi ku nsonga eno.

Leave a comment

0.0/5