
Ebintu byabukadde bisanyewo mu muliro ogukutte edduuka eritunda engoye mu tawuni ye Kakira.
Edduuka lino lya Janet Baizi nga era litunda ngoye wali ku poloti namba 52.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kiira Samson Lubega agamba tebanazuula kivuddeko muliro guno naye nga okunonyereza kugenda mu maaso.