
ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kaihura asabye bannayuganda ekisonyiwo ku kwa poliisi olw’ebigambibwa nti basajja be batulugunya abantu mu biseera by’okulonda.
Kaihura okwetonda akukoledde ku mukolo gw’okwebaza ogwategekeddwa omubaka w’ekitundu kye Bukono Pacis Namuganza.
Kayihura abadde ayanukula ebyogeddwa omubaka ono nga abaserikale ba poliisi bwebabatulugunya ebitagambika wamu n’okwetaba mu kubbira ababavuganya obululu.
Kaihura asuubizza nga bonna abaserikale abeyisa mungeri etasaana bwebajja okukolebwako nga amateeka bwegalagira.