Bya Ruth Anderah
Agambibwa okusangibwa mu kazigoke ng’ali kubikolwa ebyomukwano n’omwana omuwala ow’emyaka 11 gyoka asimbiddwa mu kkooti enkulu mu Kampala nasomebwa omusango.
Kiwanuka Vincent asomeddwa omusango gwokuganza omwana omuwala atanetuuka mu kkooti enkulu mu maaso g’omulamuzi Vincent Tonny Okwanga, wabula nagwegaana.
Oludda oluwaabi lugamba omusajja ono yakwatibwa lubona n’omwana ono nga April 21st 2016 e Katwe mu Katende zone wano mu Kampala.
Kati omulamuzi awadde olunaku lwa March 6th 2019 omusango gutandike okuwulirwa.