Skip to content Skip to footer

Ebya S6 bikomyewo n’abawala basinze ku balenzi

Bya Damalie Mukhaye

Ekitongole kyebigezo mu gwanga, ekya Uganda national examination booda kufulumizza ebyava mu bigezo bya S6, ebyakolwa omwaka oguwedde 2018.

Kati ekitongole kigamba nti wabaddewo okweyongera okukola obulungi, bwogeregeranya nengeri abayizi gyebakolamu omwaka guli ogwayita 2017.

Bwabadde afulumya ebibuuzo bino wali ku wofiisi yomukulembeze we gwanga, ssabawandiisi wa UNEB Dan Odongo, agambye nti ku bayizi emitwalo 9 mu 8,524 abatuula, abayizi emitwalo 9 mu 5,839 bayise era bebagenda okufuna, ebbaluwa ya S6.

Ono agambye nti abayizi emitwalo 3 mu 6,656 baafunye principle Pass 3, emitwalo 2 mu 6,467 principle pass 2, atenga abayizi emitwalo 2 mu 413 bafunye principle pass 1.

Kati abayizi omutwalo 1 mu 489 baagudde nenkoona nenywa, nga balagiddwa okuddamu omwaka ogujja.

Ate abayizi abawala bakoze bulungi okukira ku balenzi, okwwukananako ku bigezo ebyakalamirizo ebirala.

Abayizi abawala 42% bafunye principal pass 3 atenga abalenzi babadde 33.7%.

Mungeri yeemu ebigezo byabayizi 91 byebikwatiddwa olwokwenyigira mu kukoppa.

Dan Odongo agambye nti abayizi abo basubira bayambibwako, nabamu bakakusa zzi answer nebayaingira nazo, mu bifo ebyebakoleramu.

Essomo lyokubala, Biology ne Chemistry, gegamau ku gebasinga aokukoppa.

Wabula assubizza nti abayizi banao baakuyitibwa benyonyoleko, era oluvanyuma ekitongole kyakusalaow ku bigezo byabwe bino.

Era UNEB ejjeeko abe ssomero lya Seesa High school, Kakungube, Center yaabwe wali mu district ye Kasanda olwokumenya amateeka, gebigezo.

Wabula abazadde nabayizi basabiddwa okuyita ku nkola eyamasimu, okumanaya bwebakoze.

Ogenda wowandikira message, notekamu UACE nolekawo akabanga nozaako index number nosindika ku 6600.

Leave a comment

0.0/5