
Abakungu ba gavumenti ya Uganda ne Congo bakutuula olwaleero okuteesa ku ngeri gyebayinza okumalawo okutibwa kwabannayuganda okweyongedde ensanji zino.
Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti ye Nebbi Bessie Alijong ategezezza nga bwewaliwo munnayuganda omulala eyakubiddwa amasasi agamutiddewo ku Nyanja Albert mungeri etanategerekeka.
Agamba ettemu lino lyongedde okukyankalanya eby’obusuubuzi wakati w’amawanga gombi.
Ssentebe w’egombolola ye Panyimur Shaban Ofoi agamba Wathum Mundu nga muvubi yeyatiddwa abasajja 3 abaabadde mu ngoye zabulujjo.
Wiiki 2 emabega abaserikale ba poliisi 3 batiddwa ku Nyanja yeemu abateberezebwa okubeera abajaasi ba Congo.
Uganda n’eggwanga lya Congo bagabana enyanja Albert nga era abavubi bangi kwebaggya ekyokulya.