Amawulire
Endwadde ya Kalusu ebaluseewo mu disitulikiti yé Bugiri
Bya Abubaker Kirunda,
Obulwadde bwa kalusu bubaluseewo mu disitulikiti y’e Bugiri ekiwalirizza ab’obuyinza okussaawo kalantiini.
Omusawo w’ebisolo mu disitulikiti y’e Bugiri, Arafat Kulaka agambye nti obulwadde buno bungi mu gombolola y’e Nabukalu.
Kulaka agamba nti obulwadde buno buleetera ekisolo okufuna ebiwundu mu bigere ne mukamwa ne kifulumya amalusu ekivaamu okufa.
agamba nti kalantiini etandikiddwawo mu Town council y’e Nabukalu.
Ayongedde nategeeza nti ebisolo ebitaliisibwa bulungi bye bisinga okukosebwa era abatuuze abalina ebisolo balina okubiriisa buli kiseera.