Amawulire
Ebibiina byábakozi bigobye Sentebe Wilson Owere
Bya Damali Mukhaye,
Ebibiina by’abakozi okwetoloola eggwanga bigobye abadde mukama wabwe Wilson Owere ng’abamulumiriza obutaba na busobozi bubakulembera.
Okumugoba mu ntebe wekigidde nga olunaku lweggulo kkooti yayisiza ekiragiro ekilemesa olukiiko tabamiruka olwe kibiina omwegatira abakozi mu ggwanga okutuula.
Omumyuka wabadde Ssentebe wekibiina kya NOTU, Stephen Mugole yalondebbwa ebibiina bya bakozi 24 ebyetabye mu tabamiruka ono atudde mu Kampala.
Richard Bigirwa yalondeddwa akola nga Ssaabawandiisi okudda mu bigere bya Peter Werikhe eyali Ssaabawandiisi nga kati mubaka wa palamenti owa Manafwa.
Olukiiko era lulonze Moses Mauku nga akola nga omuwanika wa gavumenti ate Barbra Bandaru akola nga amyuka omuwanika
Mugole agamba nti ebibiina by’abakozi 24 ku 34 byawakanya obukulembeze bwo Owere era alina okugonda.
Wabula ye Owere agiddwa muntebbe agamba nti olukiiko luno lwabadde lumenya mateeka kubanga waliwo ekiragiro kya kkooti ekiruyimiriza.