Amawulire

Museveni asabye bamusigansimbi okuva e Buyindi okwetanira Uganda

Museveni asabye bamusigansimbi okuva e Buyindi okwetanira Uganda

Ivan Ssenabulya

November 17th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

PULEZIDENTI Museveni asabye bamusigansimbi Abayindi okujja mu Uganda okutandikawo amakampuni agebyenkulakulana.

Bwabadde ayogerako eri abeetabye mu lukiiko lw’abasigansimbi abafirika na bayindi e Munyonyo, pulezidenti agambye nti gavumenti etaddewo embeera esobozesa bamusiga nsimbi okujja e uganda okukola buzinensi

Ategeezezza nti okuteeka ssente mu Uganda kibawa akatale akagazi ak’abantu nga obukadde 300 munda mu East Africa n’akatale ka Africa.

Pulezidenti abeegayiridde okussa ssente mu kukola ebigimusa ne bbaatule z’amasannyalaze n’ebirala.