Omuntu omulala eyakubiddwa ka guluneedi e Semuto afudde
Afudde ategerekese nga Julian Naluggwa ate bbo abalala babiri okuli Nalongo Nakayiza ne Goretti Namakula bali mu mbeera mbi ddala.
Ka guluneedi kano kalondeddwa abaana ababadde bagenze okutyaba nebakatereka mu ffumbiro gyekayabidde
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti ka guluneedi kano kasse omwana ow’emyaka eyategerekese nga Kisakye Nalwadda.
Mu ngeri yeemu era twogeddeko n’ow’oluganda lw’abagenzi ategerekese nga Paul Kiryagana ategeezezza ng’akabenje kano bwekabaddewo ku ssaawa kkumi na bbiri ez’akawungeezi.