Poliisi ng’eri wamu n’abantu babulijjo babaze ku muyiggo gw’omwana w’emyaka etaano etabuze mu ngeri etategerekeka
Omwana ono Cynthia Natuuzi yabula ku lw’okuna oluvanyuma lw’omukozi okumulagira okunoonya sapatu zeyali abuzizza
Okusinziira ku b’oluganda lw’omwana ono, omwana ono eyabadde azannya ne banne yabuziza sapatu olwo omukozi n’amulagira okuzinoonya kyokka nga yakanyizza kulinda kukomawo nga tadda.
Maama w’omwana ono omuto Sarah Apoi agamba nti bafubye okunoonya buli wamu nga tebalaba mwana kwekusalawo ensonga okuzongerayo ku poliisi.