Ab’ekibiina kya UPC bataddewo obukwakkulizo bwebaba nga bakwegatta ku mukago gw’abavuganya gavumenti ogwa the Democratic alliance.
Ekibiina kino kyagaala omukulembeze waakyo y’aba akwata bendera ku bukulembeze bw’eggwanga
Bano era bagamba nti bajja kusimbawo abantu baabwe ku mitendera gyonna awatali kwegatta ku kibiina kyonna nti basimbewo omuntu omu.
Bino bisaliddwaawo bannakibiina abasoba mu 800 abakungaanidde ku Jokas Hotel e Namboole.
Akulira ekibiina kya UPC Jimmy Akena agamba nti ekigendererwa mu kino kunyweeza kibiina okuviira ddala wansi
Mu ngeri yeemu bannakibiina bagobye munnamateeka w’ekibiina Peter Walubiri n’eyali akulira ekibiina Dr Olara Otunnu ku Lukiiko oluddukanya ensawo ya Obote Foundation.