Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC era ngayesimbyewo okukwata bendera ya FDC mu kulonda kwa 2016, Dr Kiiza Besigye alabye katemba atali musasulire abegwanyiza okwesimbawo ku bubaka bwa parliament mu kibiina kya FDC mu municipality ye Soroti bwebalwanidde ebyuuma by’emizindaalo.
Obutakanya buno bubaluseewo okuvanyuma lwa Herbert Ariko bwagezezaako okujjawo emizindaala abategesi gyebabadde baleese, olwo natekawo emotooka eriko emidaalo gye gyabadde ayagala Besigye akozese.
Ariko eyali omukozi mu parliament avuganya ne Moses Okia Attan, nganaye yali mukozi mu parliament.
Wabula oluvanyuma Ariko asinziddwa amaanyi era emizindaalo gye negyigyibwawo.
Abawagizi ba FDC mu bitundu bya Teseo betemyemu ngabamu bawangira Besigye ate ngabalala bawagira Maj Gen Mugisha Muntu.