Bya Magembe Ssabiiti.
Police e Mubende ekutte ssemaka abadde asibye omwanawe ku njegere okumala sabiiti namba nga tamuwa mere wadde amazzi.
Omusajja akwatidwa ye Mwesige Isa omutuuze ku kyalo Kirungi mu Mubende municipality.
Ono abadde yasubira mutabaaniwe Alamanzani Mwesige ow’emyaka omwenda mu nnyumba.
Twogedeko ne Ssemaka ono n’akkiriza nti kituufu yasiba mutabani we ku njegere , wabula nga kino yakikola kumuwonya kubula kubanga atera kw’emulula naava ewaka.