Akakiiko k’abantu 30 okuva wano mu Uganda ne Democratic republic of Congo bakumala ennaku 3 mu biundu bye Muhangi okugonjoola ani alina buvunanyizibwaki ku Nyanja ya Albert ne Edward.
Aba Uganda bakulembeddwamu Amb. Paul Mukumbya omukungu wa Uganda mu mukago gwa East Africa wamu n’abakungu b’ebyobuvubi, ab’ekitongole ekiwooza ba RDC ku nsalo eyawula amawanga gombi n’abalala.
Bbo ab’e Congo bakulembeddwamu Amb Jean Pierre Masala okuva mu kitebe kya Congo wano mu Uganda.
Mu Uganda ekitundu kya Albertine kziingiramu disitulikiti okuli Bushenyi, Rubirizi, Mitooma, Kanungu, Ibanda, Kiruhura, Kamwenge, Kasese, Rukungiri and Bundibugyo, Ntoroko, Hoima, Buliisa, Kibale, Kagadi, Masindi ne Nebbi .
Ate mu ggwanga lya DRC enyanja Edward eri mu mambuka g’essaza lye Kivu ate lake Albert eri mu ssaza lye Ituri.
Omukwanaganya wa pulojekiti ya LEAF II Stephen Ogwede agamba ensisinkano eno egendeerddwamu kugonjoola nsonga zabutonde bwansi mu bitundu ebigabana enyanja zino.