Abamu ku bakulembeze b’abayizi abasiramu mu ntendekero ekkulu e Makerere batisatisiza okukuba abakulira entendekero lino mu kooti, olwokulinya eggere mu lukungana lwabwe akawungeezi g’egulo.
Poliisi ngeddumirwa DPC we Wandegeya Brain Ampirwe wamu n’abakulira Makerere bagaanyi olukungaana luno okugenda mu maaso n’abagamba nti lwabadde lumenya mateeka oluva lwokukizuula nti Erias Lukwago ne Amama Mbabazi babadde bayitiddwa mu lukungaana luno.
Abakulira abayizi bano Ahmed Kabuye agambye nti bali bamaliriza okusasula ekifo wamu n’okutegeeza poliisi, kyoka kyabaabusseko poliisi bweyabayimiriza.
Bano bagala university ebakirize okutendeka olukungaana lwabwe olunaku olulala oba bagende mu kooti.