Amawulire
Burora ayimirizza okugaba ensimbi za PDM e Rubaga
Bya Prossy Kisakye,
Amyuka omubaka wa gavumenti atuula mugombolola yé Rubaga, Anderson Burora, ayimirizza enteekateeka eyókugaba ensimbi za Parish Development Model (PDM) mugombolola eno lwakubatabaawo bwerufu.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu ofiisi ye e Lubaga RCC, Burora anenyezza ekitongole ekifuga ekibuga, ekya Kampala Capital City Authority (KCCA) ekirabirira enteekateeka eno olw’okulemererwa okulondoola abalina okuganyulwa abatuufu kuba kizuuliddwa nti abantu abali ku lukalala lwokufuna ensimbi zino si bebatuufu
Ategeezezza nti abantu 195 be baalina okuganyulwa mu nteekateeka eno mu Divizoni kyokka kyewuunyisa olukalala luno luliko abantu 489, n’asaba okwongera okunoonyereza ku ani yabagatta ku lukalala.
RCC ategeezezza nti abaganyulwa mu nteekateeka eno bateekeddwa kuba baavu wabula olukalala lujjudde abafuna emisaala eminene, abavuzi ba Benz n’abalala.
Mungeri yemu ategezeza nga bwebalina amaanya ga bakungu bebagala poliisi enonyerezeeko munsonga eno.