Bya Shamim Nateebwa
Amagombolola okuva mu Masaza okuli, Gomba, Ssese ne Ssingo, gakiise embuga mu nkola ya Luwalo-Lwaffe era galeese oluwalo lwa bukadde 30 nomusobyo.
Ku mukolo gwegumu ekibiina kya UHMG kiwagidde emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka age 63 bwekiguze obujoozi bwa bukadde busatu 3.
Ate Equity bank ewagidde enteekateeka z’amazaalibwa ga n’obukadde 10.
Katikkiro asinzidde wano naddamu nannyikiza ebikulu ebyayisiddwa mu Nnamutaayiika w’obwakabaka owa 2018-2023 omuli, Okunyweza n’okukuuma Namulondo, okutumbula eby’obulamu, okukubiriza abantu okukola ennyo nga bayita mu nkola ya Mmwanyi Terimba, n’okubiriza abantu okutandikawo ebibiina by’okwekulakulanya.
Yo egombolola ya Ssaabaddu Bukuya ereese amakula ga Beene n’oluwalo.