Bya Ruth Anderah.
Akulira abalamuzi ba kooti enkulu Yorokamu Bamwine asabye bannayuganda bonna okugatta amanyi okulwanyisa ebikolwa eby’obusambatuko mu maka kaakano.
Bwabadde ayogerera mu lukungana olutegekeddwa okwongera ku ngeri abakyala gyebafunamu obw’enkanya , omulamuzi Bamwine agambye nti ebitongole bingi bitegekeddwa okulwanyisa omuze guno, naye biremeddwa kubanga abantu benyini bakyagaanye okwetaba mu kaweegube ono .
Ono agambye nti omuwaatwa guno gweguvudeko emize gino okweyongera , kyoka nga ebiseera ebisinga n’emisango gino giremwa okunonyerezebwako kubanga abantu abakoseddwa bagaana okuwa obujulizi.