Amawulire
Museveni agenda kwogerako eri eggwanga akawungeezi ka leero
Bya Rita Kemigisa,
Pulezidenti Museveni olwaleero asuubirwa okwogerako eri eggwanga.
Abómu makage baategeezezza nti okwogera kwa pulezidenti kugenda okulagibwa butereevu ku ttivvi zonna ne leediyo okutandika ku ssaawa 2 ez’olweggulo era kugenda kukwata ku nsonga z’ebyobulamu.
Mu kwogera kwe okusembyeyo mu bubaka bweyatiika omumyukawe Jessica Alupo, yayongezzaayo omuggalo gwa Ebola mu Mubende ne Kassanda.
Kati bannauganda balinzekulaba ebipya by’anaakola okuva omulwadde we Ebola abadde akyasigaddeyo okusibulwa ku Lwokusatu lwa ssabiiti eno.
Amawulire era galaga nti disitulikiti zombi tezinawandiisa mulwadde wa Ebola mu ennaku 20 eziyise.
Abatuuze bangi babadde basaba omuggalo guggyibwewo olwokunyigirizibwa kwe bayitamu.
Okwogera kwa pulezidenti era kugidde mu kaseera ng’obulumbaganyi ku bifo eby’okwerinda bweyongedde.