Bbo abasuubuzi ku bizimbe bya city centre ne Energy Centre bavudde mu mbeera nebekalakaasa nga bawakanya okwongezebwa ensimbi z’amasanyalaze.
Bano bagadde amaduuka gaabwe nga bagamba nekabuyonjo zebalina ku kizimbe tezimala.
Yo poliisi kati eri mu kulawuna ebizimbe byonna okulaba nga abasuubuzi bano tebakola ffujjo lyonna.
Aduumira poliisi ya CPS Godffrey Musana agamba kati bategese olukiiko okutema empenda butya bwebayinza okumalawo ekizibu kino.