Bya Abubaker Kirunda.
E Mayuge ku kyalo Bufulubi agavaayo galaga nga entiisa bwebuutikidde abatuuze nga kino kidiridde omwana ow’e myaka 10 okufiira mu kinya ky’amazzi.
Afudde ategerekese nga Joel Mugoni mutabani wa Yoweri Wanga nga ono mutuuze mu gombolola ye Immanyiro.
Akola ku kunonyereza ku buzi bw’emisango e Mayuge Abdallah Nasser Mulimira agambye nti omugenzi yabadde nemunne owe myaka 7 nga batolose okugenda bakyalireko maama waabwe e Luweero , kyoka omugenzi bweyakyamye kukidiba okunaabako alyoke yeyongereyo n’olugendo nagwamu nafa.
Kati police etandise okukola okunonyereza ku nsona eno.