Skip to content Skip to footer

Abaana b’amasomero bakutandika okubudabudibwa.

Bya  samuel ssebuliba

Mukaweefube w’okumalawo enjawulo wakati wa baana abasomera mu byalo, ko n’ebibuga, abakulu mu kibiina ekigatta abakola ogw’okubudabuda abantu ekya Uganda Counselling Association batadewo ekiwayi eky’enjawulo  ekigenda okubudabuda abaana abali mu masomero.

Kinajukirwa nti ebibuuzo ebya S.4  ebyakadda byalaze nga abaana abali mu masomero g’obwananyini era abasasula obuwanana bwebaakoze obulungi, songa abali mu masomero government tebaakoze bulungi kimala.

Twogedeko n’ayogerera ekibiina kino Ali Male n’agamba nti ekiwayi kino kyebaatumye  A-Z professional counselling and support center kigenda kukola ku nsonga z’abayizi nadala abatawankana olw’obutaba na school fees, okukozesa ebiragalalagala ,ababoolebwa kko nebira.

Ono agamba nti bagenda kubuna amasomero gona mu uanda  nga bakola ku nsonga nga ezo.

Leave a comment

0.0/5