Bya Ivan Ssenabulya
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni mu bubaka bwe obwa Eid eri abayisraamu, abasabye mu buvumu okwenganga byonna ebibasomooza okuli enjawukana nobwavu na magezi okulaba nti bakyusa embeera zaabwe nemu gwanga awamu.
Abayozayozezza okutuuka ku Eid nokumalako omwezi omutukuvu.
President Museveni ayogedde ku ddembe lyokusinza, eririwo mu gwanga wabula nalabula nti terisanye kukozesebwa bukyamu.