Bya Ritah Kemigisa.
Ministry ekola ku nsonga z’abakozi ba government etegeezeza nga olunaku olwa nga 10th – ku lw’okubiri luno bwerugenda okuba olw’okuwumula, kisobozese abantu okugenda okwetaba mu kulonda abakulembeze bebyalo.
Kinajukirwa nti kuno okulonda kwakusimba mu mugongo, era nga kwakutwala esaawa emu yokka, kale nga akakiiko ak’ebyokulonda kaasaba nti lubeera lwakuwumula okusobozesa abantu bonna okwetaba mukulonda kuno.
Kati bwabadde alangirira okusalawo kuno , minisita omubeezi akola ku government ez’ebitundu Jenifer Namiyangu agambye nti kigenda kugasa naddala abakozi ba government abeetaga akadde nabo okwetaba mu kulonda kuno.
Kuno okulonda kwakubaamu ebyalo 60,801 nebyo ebyakatondebwawo