Bya Sadat Mbogo.
E Butambala waliwo Omusajja wa myaka 65 ku kyalo Ssenge mu ggombolola y’e Kibibi mu district y’e Butambala asangiddwa nga yeetuze nga omulambogwe gulengejjera ku muti.
Ayetuze ye Abdul Kintu nga ono kigambibwa nti abadde n’ebizibu okuli batabanibe ababiri abaasibiddwa sabiti ewedde lwakubba kasooli ne Vanilla ate naye akawungeezi akayise yakwatiddwa ne mukaamulirwanawe okugonjoola ensonga n’asinga amakaage okufuna ensimbi aliyirire musajja munne.
Abatuuze bagamba nti ebizibu bino byandibanga byebyamuviiriddeko okwejja mu budde.
Police nga ekulembeddwamu Hashim Kasinga aduumira police e Butambala ezze omulambogwe neegutwala mu ggwanika e Gombe okwekebejjebwa nga okunonyereza bwekugenda mu maaso.