KKampuni y’emifaliso eya Crestfoam tejja kuggulwaawo okutuuka nga bafunye alipoota ku muliro ogwatta abantu mukaaga
Minisita w’abakozi Kamanda Bataringaya akyaddeko ku kkolero lino,agambye nti bano basooka kusasula abaviibwaako abaabwe nga tebanaddamu kukola
Ono era yenyamidde nti ekkolero eddene nga lino lirina omulyango gumu nga gweguyingira ate negufuluma
Yye atwala ekkolero lino Joselyn Kateeba agamba nti bakutereeza kyokka ng’agamba nti kino kiyinza okubatwalira emyaka ng’ena