Skip to content Skip to footer

Ekisiibo ky’abayisiraamu kitandise

 

Olunaku olwaleero lwelunaku olusoose mu mwezi omutukuvu ogwa Ramadan ogw’ekisiibo eri abayisiraamu.

Obukadde n’obukadde bw’abakkiriza okwetoolola ensi yonna lwebatandise okusiiba okuva e mambya lw’esala okutuusa enjuba bw’egwa nga bagoberera enkola ya nabbi Muhammad.

Akulira abatabuliki wali ku clock Tower Sheikh Sulaiman Kakeeto wabula alabula abayisiramu obutalekaayo kulya na kunywa kwokka wabula n’empisa envundu zonna bazireke.

Seeka era alabudde abayisiraamu obuteekwasa busongasonga obutasiiba nga tebali mu muteeko gwabo abasonyiyibwa okusiiba mu Quran.

Leave a comment

0.0/5