Okuwulira omusango gw’abagambibwa okutega bbomu ezatta abantu mu kibuga kampala kuyimiriziddwa okumala akabanga oluvanyuma lw’omujulizi abadde mu kaguli okufuna embiro n’okutandika okulumwa omutwe
Idris Nsubuga nga mujulizi wa kubiri abadde asoyezebwa bibuuzo ab’oludda oluwolereza abatujju Caleb Alaka ekiwalirizza omulamuzi omusango okugwongezaayo okutuuka olunaku lw’enkya
Omulamuzi Alfonse Owiny Dollo ayongezezzaayo omusango okusobozesa omujulizi ono okufuna obujjanjabi akomezebweewo mu kkooti olunaku lw’enkya
Nsubuga enkya ya leero yeegaanye okubeera memba wa Alshabab, ADF, oba Al-qaeda.
Ono yoomu ku bajulizi abakulu mu musango guno nga kati ali ku kibonerezo kya myaka 25 mu kkomera e Kigo.
Ono yasalirwa ekibonerezo kino oluvanyuma lw’okukkiriza emisango gy’ettemu 76, esatu egy’obutujju n’emirala 10 egy’okugezaako okutta abantu
Yafuuka mujulizi wa gavumenti