Bya Ruth Anderah
Omubaka wa Kyadindo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu adukidde mu kooti enkulu ngawakanya ekya poliisi okuwera ebivvulu bye.
Kinajukirwa nti akawunegezi akayise police yawandiikide omubaka Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobie Wine nebamugaana okudamu okwetaba mu kivulu kyonna kubanga abikozesa okwogera eby’obufuzi.
Kati wano Kyagulanyi wasinzidde natwala police mu kooti nga agamba nti mu kukola kino mpaawo kyabamenye, kubanga okwogera ku by’obufuzi mu Uganda tegunafuuka musango.
Ono ayisse mu munamateeka we Ladislous Rwakafuuzi, ngagamba nti afiiridwa obukadde 300 zabadde agenda okujja mu bivulu ebisazidwamu mu maaso awo.
Ono abadde alina ebivvulu e Mukono, Kamuli ne Kasese
Kati omusango gugenda kuwulirwa omulamuzi Worayo Henriata.
