Bya Ritah Kemigisa
Minister owebyensimbi nokutegekera egwanga Matia Kasaija alabudde aboludda oluvuganya gavumenti, ku kyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga, nagamba nti nabakiwagira balina ensonga zaabwe.
Kasaija abadde ayogera ne banamwulire nategeeza nti buli omu atekeddwa okuweebwa ekyanya, okwogera endowooza ye awatali kutisibwatisibwa.
Bino abyesigamizza ku kavuvungano akuli mu gwanga engeri gyekakaosaamu ebyenfuna.
Wano alabudde abantu babulijjo okwewala okwambalagana ne poliisi, nagamba nti abasirikale balina obuyinza okukuba ku nnyama.
Kasaija era asabye aboludda oluvuganya gavumenti bakomye enkungaana wabula, basisinkanenga abakwtibwako okubebuzaako ku nnongosererza mu ssemateeka we gwanga.