Skip to content Skip to footer

Besigye akyaliddeko abali mu malwaliro abakoseddwa e Rukungiri

Bya Damalie Mukhaye

Munna FDC, Dr Kizza Besigye olwaleero akyaliddeko abantu abakoseddwa mu kanyolagano kabawagizi ba FDC ne poliisi mu district ye Rukugiru.

Okulwanagana kwabaluseewo e Rukungiri, Police bweyakubye amasasi mu bbanga okugumbulula olukungaana olwabadde lutegekeddwa nabantu nebajanukuza mayinja, omuntu omu nafiira mu kanyolagano kano.

Bwabadde ayogerako naffe, omumyuka wakulira ekiwayi kyabavubuka mu FDC Lubega Walid atubuliidde nti Dr Besigye ne Patric Amuriat avuganya kubwa presidenti bwekibiina bakyaliddeko abalwadde 6 ku ddwaliro lya St Karoli Lwanga e Nyakibale mu distrct ye Rukugiri.

Wabula era atubuliiddwe nti balina olukungaana olulala olwaleero e Kabale mu kisaawe.

Leave a comment

0.0/5