Amawulire
Omutembeyi asindikibwa e Luzira lwa bubbi
Bya Ruth Anderah,
Omutembeeyi agambibwa okuba nti abadde atembeyeeza ebintu bye mumaduuka g’omukibuga n’ekigenderwa ekyokubba avunaniddwa.
Birungi Rashid myaka 25 nga mutuuze we Salama Makindye, asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku Buganda Road Siena Owomugisha abasomedde omusango gw’obubbi nagwegaana.
Wabula amangu ddala oluvanyuma lw’okwegaana omusango omulamuzi amusindise ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa December 22nd lwanadizibwa atandike okuwerenemba n’emisango gy’obububbi.
Kigambibwa nga ennaku z’omwezi 13th November 2022 ku Kizimbe Galiraya, Balungi yefuula agenze okutembeyeyezzamu nabba emassimu g’ekika kya sumsang 2 nga gombi awamu gabalirirwamu ensimbi za Uganda 4.2million.
Oludda oluwaabi lugamba amassimu agabbibwa gaali ga Ssenyonga Huzaifah.