Bya George Muron, Abalimi ku kyalo Merok mu gombolola ye Katine mu disitulikiti ye Soroti district,gebakaaba gebakomba oluvanyuma lwa nnamutikwa wenkuba eyabademu omuzira okusanyawo ebirime byabwe.
Enkuba eno eyafudembye okumala essaawanga 2 yasanyizawo yiika ezisoba mu 900 ezebirime bya bantu ku byalo 6.
Sentebe wa LC 2 Charles Elocu,e Merok atubulidde nti amayumba ga bantu agasoba mu 500 ne yiika z’ebirime ezisoba mu 400 byasanyewo.
Ono mungeriyemu ategezeza nti ku byalo 4 okuli Apuuton, Ojwiny, Dokolo and Orecoi amayumba agasoba mu 200 gateredwa ku ddimwa
Elocu asbye gavumenti ebadukirire n’ensigo.