Skip to content Skip to footer

Bannauganda abasoba mu obukadde 2 balina ensimbu

Bya Henry Mulindwa ne Rita Kemigisa, Abantu obukadde 2 ne mitwalo 20 bebabonabona ne kirwadde kye nsimbu.

Senkulu wekibiina ki Epilepsy Support Association Uganda, Sarah Nekesa, agamba nti obulwadde bwensimbu kyeyongedde olwobujanjabi obutaliiwo eri ababulina, abasawo obutaba nakumanyisibwa ku bikwata ku bulwadde buno, nokusosola ababulina.

Nekesa agamba nti obulwadde buno bulemu obutanazuulwa bungi

Ono alaze obwetaavu obw’okwongera ku muwendo gwa basawo abajanjaba ensimbu

Eggwanga mu kiseera kino lirina abakugu 10 abakola ku bulwadde buno

Ku lukalu lwa Africa abantu obukadde 10 be balina ekirwadde kye nsimbu ate munsi yonna bali obukadde 50.

Ate gavumenti esabidwa okuteeka amaanyi mu kutuusa obujanjabi eri bannauganda waleme kubaawo muwatwa eri abalina na batalina bwegutuuka mu bujanjabi.

Okusaba kuno kukoledwa omusomesa ku ssetendekero e makerere mu ssomo lye byobulamu Prof Freddie Ssengooba

Ssengooba agamba nti okutuusa empereza eri abantu mu by’obulamu ekyasomozebwa ebbula lya basawo.

 

Leave a comment

0.0/5