Bya Yazid Yolisigira, Omukyala wa myaka 38 okuva mu disitulikiti y’e Namutumba akubyewo ezadde lya baana batano.
Ono abasawo mu kunywa eddagala bamugamba nti wakuzaala abaana 2 wabula ekibewunyisiza kwekulaba nti abaana babadde batano.
Sofiat Mutesi, nga mutuuze w’e Nawaikoke azadde abawala 3 na balenzi 2, ono abaanabe bonna asindise basindike tateredwako kisso.
Omwana asoose amuzaalidde Ivukula health centre III e Namutumba, abasawo bwebazudde nti munda asigazaayo abalala 4 kwekumusindika mu ddwaliro e Iganga gyazaalidde abasigadde.
Mutesi agamba nti naye amawulire gokuzaala abaana abataano agategeredde mu ddwaliro abadde takimanyiko.
Mutesi alina abaana 14, yasooka 3 naddako abalongo 2 na baana abalala 2
Maureen Babirye, omusawo omuzaalisa ku ddwaliro Iganga atubuulidde nti abaana bonna ne maama bonna bali mu mbeera nnungi.