Bya Prossy Kisakye ne Ivan Ssenabulya, Kamisona akulira amasomero g’obwannanyini na matendekero mu minisitule y’ebyenjigiriza Edward Sebukyu alabudde abakulu b’amasomero ku ky’okufuula amasomero eky’obusubuzi.
Sebukyu agamba nti afunye okwemulugunya e Ntatera okuva mu bazadde nti abakulu b’amasomero babakanda ebintu nkumu songa ate abaana baabwe tebabikozesa
Ono awadde eky’okulabirako nga okusaba buli muyizi ensawo za semiiti, loolo za toyileti pepa, liimu z’empapula, enjeyo n’ebirala songa abayizi tebasobola kubikozesa mu taamu emu kugwawo
Sebukyu agamba nti bino babibatuma buli taamu n’oluvanyuma ne babitunda eri abatabirina ate ku buwanana bwogerageranya n’emiwendo egiba ku katale.
Ono bano abalabudde okwedako nti kuba bandiremesa abazadde bamufuna mpola okuwerera abaana baabwe olw’ebintu enkumu ebibakandibwa.
Ate ye Meeya wa munispaali y’e Mukono George Fred Kagimu alabudde abazadde abatafaayo ku baana, baabwe ne bataayaaya mu kibuga naddala mu luwummula.
Kagimu asabye abaana okufaayo okubaako emirimu gy’ebakola awaka, n’okuyamba bazadde baabwe.
Ono era alabudde abazadde wamu n’abaana okwewala ebibanda ne betting kubanga baakukwatibwa