Skip to content Skip to footer

Aba pipo pawa basazeko eddwaliro

Bya Moses Ndaye, Waliwo ekibinja kya bawagizi b’e kisinde kya People power abalumbye eddwaliro ekkulu e Mulago nga bagala kubawa mulambo gwa Brian Ssegoma aka young Molo.

Mulo yakwatibwa gye buvudeko eggye ekuuma byalo natwalibwa e Kabasanda.

Bano nga bali wamu n’omukyala wa young mulo mbu bafunye amawulire nti omuntu waabwe baamusindise e Mulago nga muyi n’oluvanyuma naafa.

Abakulira eddwaliro babakkiriza okwekebejja emirambo gyonna mu ggwanika ne kizuulibwa nga taliiyo wabula oluvanyuma poliisi ebategezeza nti young mulo gwe banonya mulamu era ali mukkomera e Kabasanda.

Omusasi waffe waviridde mu kifo kino nga abawagizi ba bobi wine bolekedde ku kkomera e Kabasanda okuzuula amazima.

 

Leave a comment

0.0/5