Bya Ssebuliba samuel
Abakulu mu kitongole ekya KCCA bategeezeza nga bwebagenda okukwatagana ne police ya kampala n’emiriraano okutandika okuyambagana mu ngeri ey’okuduukirira ebigwa tebiraze.
Akawungeezi ak’eggulo Executive director wa kampala Jenifer musisi yawayizaamu n’aduumira police eno omujja omukulu Moses Kafeero nebakaanya okusisinkana nga entakera okuteseganya ku by’okwerinda, nga kwogase n’okutekateeka eby’entambula bya Kampala, okwewala omugoteko.
Ye kafeero ategeezeza nga bwagenda okuyambako KCCA mukuyigga abantu abeegumbbulidde omuze ogw’okuzimba ebizimbe biganyegenya okukakana nga bigudde nebitta abantu.