Amawulire

MOH efunye eddagala ery’okugezesa mu kugema ekiradde kye Ebola

MOH efunye eddagala ery’okugezesa mu kugema ekiradde kye Ebola

Ivan Ssenabulya

December 22nd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minisitule y’eby’obulamu efunye ekitundu eky’okubiri ekyeddagala erigenda okugezesebwa mu kugema Ebola.

Ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna (WHO) kinnyonnyola nti mu kiseera kino tewali ddagala lirina layisinsi erigema ekika ky’akawuka ka Ebola akava e Sudan akalumba Uganda

Era okugezesa kuno bagala kuzuula oba ddagala lino lisobola okukola obulungi mu kulwanyisa ekika ky’e Sudan.

Dr Yonas Tegegn, omukiise w’ekitongole ky’ebyobulamu mu Uganda agamba nti omugatte gwa dose zeddagala 5256 ery’okugema Ebola era nga zigenda kugezesebwa eri abantu ssekinnoomu abeetegefu okwewaayo.

Makerere University Lung Institute be banoonyereza abakulu.

Newankubadde ekirwadde kino kirabika kigenda kikendeera nga tewali muntu mupya yakwatibwa gye buvuddeko, minisita w’ebyobulamu Dr Ruth Aceng ajjukizza abantu okwegendereza okutuusa ng’ennaku 42 ziyiseewo nga 11th January 2023.